Mu nsi y’omukwano, abantu bakola ebintu eby’enjawulo okulaga nti ddala omutima guli mu laavu n’omuntu we.

Buli mwezi, omuyimbi Winnie Nwagi akola ebintu eby’enjawulo okwongera okubuzabuza abawagizi be ku nkolagana wakati we n’omuyimbi Chozen Blood.

Mu Uganda, bangi ku bawagizi ba Nwagi balina ekirowoozo nti omuyimbi waabwe ali mu laavu ne Chozen newankubadde waliwo okwebuzabuza era tewali alina kituufu.

Wabula Nwagi ku ngeri y’okulaga nti alina enkolagana enungi ne Chozen, amusindikidde sigino y’omukwano ng’ayita mu nnyimba zaabwe.

Nwagi asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram era agambye nti Chozen Blood yitayo sharp shooter, era bangi ku bawagizi be basigadde basobeddwa.