Omuyimbi Nina Roz ayongedde okulaga nti ddala Daddy Andre ye musajja yekka ali ku mutima gwe era mu nsonga z’omukwano, ali mu ssanyu.
Omwezi oguwedde ogwa October, Nina Roz yayanjula bba Daddy Andre mu bazadde oluvanyuma lw’okufuna olubuto.


Wakati nga bali mu laavu, Nina ne Andre bakubye lw’omukwano ‘Nangana’ olujjudde ebisoko bya laavu.

Mu luyimba, mujjude ebigambo by’omukwano omuli ‘Babe tufaanana tube nga tugabana laavu kugabana nkolagana, Baby you make madder tings oh Madder love nga tugabana, Me Prepare care with all my love, Tujja kuba tugabana Pretty girl oli njabala“.

Ebigambo mu luyimba, biraga nti Nina Roz alina okulaga bba omukwano okumutangira okweyambisa waaya ye yiinki 7 eri abawala abalala.

Oluyimba.

https://www.youtube.com/watch?v=NR9Vw2iURs0