Kamala Harris, 56 ayingidde mu byafaayo bya America oluvanyuma lwa Joe Biden myaka 77 okuwangula Donald Trump ku bukulembeze bw’eggwanga.

Mu byafaayo bya America, Harris ye mukyala asoose okumyuka Pulezidenti wa America era bangi ku bakyala mu kiseera kino mu America yonna bali mu kuyisa ebivvulu.

Joe Biden ne Kamala Harris
Joe Biden ne Kamala Harris

Mungeri y’emu ye mukyala asoose okufuna ekifo eky’amaanyi mu America ng’alina emisaayi egy’enjawulo. Kamala alimu omusaayi omuddugavu n’omuyindi.

Kamala mukyala mufumbo nga bba ye Douglas Emhoff ng’alina abaana omuli Cole ne Ella.

Kamala ne bba
Kamala ne bba

Kamala Harris agenda kuyingira offiisi nga 20, January, 2021 okudda mu bigere bya Mike Pence abadde amyuka Trump ku bukulembeze bw’eggwanga.