Poliisi y’e Luweero ekutte Levulandi eyawumula David Sekibaala myaka 63 okuva ku Dayosisi y’e Luweero ku misango gy’okutta mukyala we Deborah Nakalema abadde akulira abasomesa ku Kikamulo Church of Uganda Primary School mu disitulikiti y’e Nakaseke.
Nakalema yatugiddwa okutuusa lwe yafudde, omulambo ne bagwokyera mu nnyumba mu maka gaabwe ku kyalo Kavule mu Tawuni Kanso y’e Luweero.
Oluvanyuma lw’okutta omukyala, Levulandi Sekibaala yaddukidde eri muto we Sebutiko Wagaba okumutegeeza nti waliwo bbomu ekubiddwa ku makaage, era omukyala afiiriddewo.
Okusinzira ku ssentebe w’ekyalo Wilson Mukiibi, Levulandi Sekibaala ne mukyala we kati omugenzi Nakalema baludde nga balina obutakaanya, kyokka bewunyizza okusanga omukyala ng’attiddwa nga yenna ali bwereere.
Omukyala abadde yagaana bba Sekibaala okuddamu okunyumya akaboozi naye olw’empisa embi n’obutakaanya era akigambibwa omusajja abadde akulungudde emyezi 5 nga tagikwato.
Audio
Ku nsonga ezo, Isah Semwogerere, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah agambye nti Levulandi Sekibaala akwattiddwa ku misango gy’obutemu okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.
Omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Luweero okwekebejjebwa.