Bya Nalule Aminah

Poliisi ekutte ssemaka ku misango gy’okudda ku mwana omuto, ali mu gy’obukulu 12 namusobyako.

Kaweesi Paul myaka 44 nga mutuuze ku kyalo Bubiina e Nkozi mu disitulikiti y’e Mpigi yakwattiddwa.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Kaweesi y’omu ku basajja abaludde nga bataayizza abaana abato nga bagenda ku okukyaba enku n’okukima amazzi okubasobyako.

Enanga agamba nti Kaweesi musajja muvubi era omwana yamusobyako bwe yabadde agenda ku luzzi.

Audio

Mungeri y’emu Poliisi y’e Kikuube eriko omusajja gw’ekutte ku misango gy’okusobya ku mwana myaka 2 n’ekitundu.

Tumwesigye Moses ali mu gy’obukulu 33 yakwattiddwa era atwaliddwa Poliisi y’e Kikuube nga Poliisi bw’egenda mu maaso n’okunoonyereza.