Bya Nalule Aminah
Poliisi y’e Kakungube e Kyengera mu disitulikiti y’e Wakiso ekutte abantu bataano (5) ku misango gy’okutta kiggala.
Kiggala eyattiddwa ate ng’abadde mulema abadde mutuuze ku kyalo kye Namagoma mu Tawuni Kanso y’e Kyengera, nga enju ye bagikumyeko omuliro nafiira mu nnyumba.
Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga mu kwogerako eri bannamawulire ku Media Centre mu Kampala, agambye nti n’abantu abaliko obulemu balina eddembe lyabwe era ekyakoleddwa, kikolwa kimenya amateeka.
Enanga agamba nti bonna 5 bali mikono gyabwe okuyambako Poliisi mu kunoonyereza ku misango gy’okutta omuntu n’okutwalira amateeka mu ngalo.