Akakiiko k’ebyokulonda kalabudde bonna abesimbyewo, abegumbulidde okumenya amateeka ag’okulwanyisa Covid-19 ne benyigira mu mbeera eyinza okutambuza obulwadde okukikomya.

Olunnaku olwaleero, Kampeyini ziyingidde olunnaku Olwokuna eri abantu bonna 11 abesimbyewo ku bukulembeze bw’eggwanga lino ssaako n’abo, abegwanyiza okukiika mu Palamenti y’eggwanga mu kulonda kwa bonna okwa 2021.

Wabula ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama agamba nti mu nnaku 3 okuva ku Mmande okutuusa olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna nga Kampeyini ezigenda mu maaso mu ggwanga, waliwo abesimbyewo abegumbulidde okuba enkungaana oba laale ate nga  zaaganibwa olw’okutangira Covid okusasaana.

Simon Byabakama
Simon Byabakama

Mungeri y’emu agambye nti mu Kampeyini zebakuba mu ngeri amenya amateeka, tewali kwambala masiki ssaako n’abo abesimbyewo, ekintu eky’obulabe mu kutambuza obulwadde.

Byabakama, agamba nti bonna abesimbyewo balina okutambulira ku mateeka gaabwe era singa tebeddako, waliwo engeri ez’enjawulo zebayinza okuyitamu okubayimiriza omuli okusaba ebitongole ebikuuma ddembe okubayambako, okuyimiriza Kampeyini z’abo abagyemera amateeka n’okubakangavula mu ngeri ez’enjawulo.

Byabakama, alabudde bonna abesimbyewo okulowooza ku bulamu bw’abantu okusinga okuteekawo embeera, eyinza okutambuza obulwadde.

Mu kiseera kino Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ne Patrick Amuriat bebakyasiinze okuba laale wakati mu kulwanyisa Covid-19.