Kkooti enkulu e Luweero, eriko omusajja gwekalize emyaka 50 lwa bubbi.

Abdul Karim Ssenyimba amanyikiddwa nga Cobra myaka 27 okuva mu kabinja k’ababbi aka B13 era nga mutuuze ku kyalo Wapamba e Wobulenzi mu disitulikiti y’e Luweero yasibiddwa emyaka 50 bw’asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu Anna Mugenyi Bitature.

Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Beatrice Odongo nga 31, Ogwokutaano, 2018 ku kyalo Kasana Mabale mu Tawuni Kanso y’e Luwero, Ssenyimba ne banne nga bakutte ejjambiya, bayingirira omutuuze Medi Jjombwe ne bamutematema ku mutwe n’emikono ne batwala ssente miriyoni emu n’emitwalo 5 (1,050,000), Ttiivi, amassimu 2, wuufa n’ebintu ebirala ne basuubiza okutta mukyala we singa akuba enduulu.

Omulamuzi asinzidde ku bujjulizi obuleeteddwa, Ssenyimba okumusiba emyaka 50 kyokka amusaliddeko ebbanga lyakulungudde ku limanda oba okujjulira mu nnaku 14 zokka.