Abamu ku batuuze ku kyalo kye Kajola-Sagamu mu ssaza lye Ogun mu ggwanga erya Nigeria basabye Poliisi okubonereza omuvubuka Babatunde Adeyeye mu ngeri esanidde.

Adeyeye yakwatibwa Poliisi mu kibuga Lagos oluvanyuma lw’okukwata ka vidiyo ng’anywegera omwana omuto ate nga muto we.

Kigambibwa omwana wa maama we omuto (mujjananyina) era yakutte ka vidiyo ng’ali n’omwana omuto bali mu bikolwa mu ngeri ya laavu.

Wabula wadde Poliisi yakwata Adeyeye ku misango gy’okutyoboola eddembe ly’abaana abato n’abakyala, abatuuze bagamba nti Adeyeye agwanidde okusigala mu kkomera n’okuva ku kyalo kyabwe.

Wabula Adeyeye agamba nti vidiyo yagikwata nga 2, June, 2020 era bali mu muzannyo era asabye okusonyiyibwa kuba yakwata vidiyo mu mutima mulungi wadde tewaali mbeera yonna ya mukwano n’omwana omuto.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu kibuga Lagos DSP Bala Elkana agamba nti Poliisi eyongedde amaanyi mu kunoonyereza ku nsonga ezo.

Mungeri y’emui agambye nti Adeyeye ali ku Yunivaasite y’e Lagos.