Poliisi mu Kampala ekutte abantu 3 ku misango gy’omukyala okufiira mu Kkanisa e Nansana.
Pasita Kisa Kya Mukama Juliet, nannyini kkanisa ya Prayer Pays yakwattiddwa ne banne babiri (2) olw’omukyala Birungi Sarah okufiira mu kkanisa.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, Birungi yagenze mu kkanisa nga mulwadde ali mu mbeera embi, Pasita Kisa Kya Mukama ne banne ne bamugaana okugenda mu ddwaaliro era ne basuubiza okumusabira okuwona obulwadde.
Owoyesigyire agamba nti omukyala Birungi olw’afudde, Pasita Kisa Kya Mukama ne banne kwekuddukira ku Poliisi nga basobeddwa gye bayinza okutwala omulambo.
Agamba nti basatu (3) bakwattiddwa okuyambako Poliisi mu kunoonyereza ku nfa ya Birungi.
Eddoboozi lya Luke