Bya Nakaayi Rashidah
Omukyala Sheila Alia Nadege amanyikiddwa nga Nalongo Sheila Don Zella addukidde mu kkooti mu Kampala ku misango gy’okubibwako ebintu bye bwe yabadde agenze okuwumulako ku Speke Apartments ez’omugagga Sudhir Ruparelia ali mu gy’obukulu 64.
Omusango, gutwaliddwa mu kkooti enkulu etawulula enkaayana mu Kampala era Don Zella akulembeddwamu bannamateeka be okuli aba M/S Semuyaba, Iga and Co Advocates ssaako ne M/s Nsubuga K.S and Co advocates.
Mu kkooti, Don Zella agamba nti nga 6 omwezi oguwedde ogwa Desemba, yapangisa luumu ku Speke Apartments ku Wampewo avenue namba 107 ne 512 wabula ku ssekkukulu nga 25, omwezi oguwedde ogwa Desemba, bwe yali atambuddemu, yagenda okudda ng’ebintu bye bitwaliddwa.
Agamba nti omubbi, yatwala ebintu omuli emitwalo 9 egya ddoola, ssente obukadde 30, ebyokwewunda biri 15,000 ogwa ddoola, amassimu 4 gali mu 4800 eza ddoola, Camera ekika kya Nikon 4000 eza ddoola, paassipoota 8, Laptop 2 nga za 3000 eza ddoola ssaako n’ebintu ebirala.
Kigambibwa ebintu byatwalibwa Jeremiah Ojok eyali apangisiza luumu namba 110 okumala ennaku 10.
Don Zella awadde omugagga nannyini Speke ennaku 15 zokka okumuddiza ebintu bye ebiri mu bukadde 460 oba okuwerenemba n’emisango gy’obulagajjavu mu kkooti.