Omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Gladys Kamasanyu ayongezaayo ekibaluwa ki bakuntumye ku Pasita Franklin Mondo Mugisha, nannyini kutandikawo kkanisa ya Empowerment Christian Centre Church International.

Mu kkooti akawungeezi ka leero, munnamateeka wa Pasita Mondo, Robert Rutaro agambye nti Pasita Mondo abadde mulwadde wa Covid-19 kyokka wadde yafunye obujanjabi, tannaba kufuna kiwandiiko kyonna ekiraga nti yawonye era y’emu ku nsonga lwaki n’olunnaku olwaleero, alemeddwa okweyanjula mu kkooti.

Munnamateeka Rutaro azzeemu okusaba omulamuzi okwongezaayo okuyita Pasita Mondo mu kkooti okutuusa ng’afunye ekiwandiiko ekiraga nti yawonye Covid-19.

Omulamuzi Kamasanyu akkiriza okusaba kwe era ayongezaayo okuyita Pasita Mondo mu Kkooti okutuusa nga 28, omwezi guno ogwa Janwali, 2021.

Pasita Mondo ali ku misango 3 gy’okufera abantu ensimbi n’abantu 3 omuli Pasita Siraje Ssemanda, munnamateeka Jimmy Arinaitwe abali ku limanda mu kkomera e Kitalya ssaako n’omuyimbi Margaret Nakayima amanyikiddwa nga Maggie Kayima Nabbi Omukazi ali ku limanda mu kkomera e Kigo.

Ensimbi ezogerwako ziri mu biriyoni 4 era kigambibwa baziggya ku bantu mu bitundu bye Bombo, Luweero, Iganga, Kaliro, Tororo ne mu Kampala wakati wa 2014 ne 2020.