Poliisi ekutte abantu babiri (2) abaludde nga banoonyezebwa ku misango gy’okubba nga beyambisa emmundu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
Abakwattiddwa kuliko Bataringaya Godfrey myaka 36 nga mutuuze ku kyalo Nyabugando mu ggoombolola y’e Kamwenge mu disitulikiti y’e Kamwenge ne Katamba Abudul Akim myaka 48 nga ye mutuuze ku kyalo Mijunju mu ggoombolola y’e Kibito mu disitulikiti y’e Bunyangabo.
Abakwatiddwa, basangiddwa ne Pikipiki enzibe ekika kya Bajaj namba UFD 954L, emmundu ekika kya SMG, amasasi 7, ejjambiya, ennyondo ssaako n’ebintu ebirala.
Poliisi egamba nti abakwate, essaawa yonna bakutwalibwa mu kkooti ku misango gy’okubbi, okusangibwa n’ebyokulwanyisa.