Kkooti y’abaana abato mu ggwanga erya Nigeria mu kibuga Uyo, etandiise okuwuliriza emisango egivunaanibwa abalenzi 2 abali ku misango gy’okutigatiga omuwala omuto ali mu gy’obukulu 11 nga bali ku ssomero.
Abalenzi bombi bali mu S2 era bonna bali myaka 13 era baguddwako emisango gy’okuwebuula omwana omuto, ekintu ekimenya amateeka.
Mu kkooti, abalenzi bavunaanibwa n’abantu bataano (5) omuli abasomesa kyokka ye pulinsipo w’essomero ayimiriziddwa.
Wabula emisango gyonna bagyegaanye era mu kkooti temukkiriziddwa bantu wadde bannamawulire.
Kigambibwa abalenzi batambuza emikono gyabwe ne bakwata omuwala ku mabeere ssaako n’ebitundu by’ekyama ku myaka emito.