Dr. Monica Musenero, omuwabuzi wa Pulezidenti Museveni ku nsonga z’ebyobulamu agumizza eggwanga ku nsonga z’okuzza bannansi ku muggalo wakati mu kulwanyisa Covid-19.

Uganda yakazuula abalwadde 38,806 nga ku bo, 13,699 banjanjabiddwa ate 24,791 bakyali ku bujanjabi ate 316 kati z’embuyaga ezikunta.

Wabula bangi ku bannayuganda, babadde mu kutya nga bagamba nti Gavumenti eyinza okuzza abantu ku muggalo wakati mu kulwanyisa Covid-19 nga mu ggwanga erya Rwanda, Gavumenti bwe yazizza abatuuze n’abasuubuzi mu kibuga Kigali ku muggalo olw’abantu abazuulibwa nga balwadde okweyongera.

Rwanda yalagidde abakozi okusigala awaka okuggyako abakozi ab’enkizo, emmotoka tezikkirizibwa kutambula okuggyako nga zikiriziddwa Poliisi okumala ennaku 15.

Wabula Dr Musenero agamba nti mu Uganda, okutya kweyongedde mu byalo Covid okweyongera okutambula n’okutta abantu ate e Rwanda Covid asinga mu kibuga.

Agumizza bannayuganda bannayuganda okutambuza emirimu wakati mun kwetangira obulwadde omuli okweyongera amaanyi mu kwambala masiki.

Dr Musenero