Bannamateeka ba Pasita eyasindikiddwa mu kkomera ku misango gy’okusobya ku baana be ssaako n’okubatikka embutto, basuubiza okuddukira mu kkooti, okuwakanya ekibonerezo ekyawereddwa omuntu waabwe.
Pasita ali mu gy’obukulu 45 nga mutuuze mu ggoombolola y’e Kirinyaga mu ggwanga erya Kenya, yasindikiddwa mu kkomera emyaka 140 ku misango gy’okusobya ku baana be, emisango gye yakkirizza.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, mu Gwomukaaga, 2019, Pasita yasobya ku mwana we eyasooka naamutikka olubuto ng’ali mu gy’obukulu 16, oluvanyuma omwana yazaala mwana munne omuwala.
Ate mu Gwomunaana omwaka oguwedde ogwa 2020, Pasita yazeemu okusobya ku mwana we ali mu gy’obukulu 14 era naye yamutiise olubuto era essaawa yonna agenze kuzaala.
Pasita yakwattiddwa nga yekwese mu kyalo Mbeere South mu ggoombolola y’e Embu era bwe yasimbiddwa mu kkooti, olw’akkiriza emisango, omulamuzi yamusibye emyaka 70 ku buli mwana we gwe yasobyako nga gye myaka 140.
Wabula bannamateeka be, bagamba nti wadde yakola nsobi okusobya ku baana be ate era wadde yakkiriza emisango, egy’okusibwa emyaka 70 ku buli mwana kisukkiridde obunene era basuubiza okuddayo mu kkooti, okusaba okukikendeeza.