Poliisi etandikiddewo okunoonya abatuuze abenyigidde mu kutwalira amateeka mu ngalo ku kyalo Ndegeya mu ggoombolola y’e Kisekka mu disitulikiti y’e Lwengo olw’okutta omwana Monica Namusanya abadde mu gy’obukulu 14 nga yetemeddwako omutwe.
Ekiwuduwudu kya Monica kyasangiddwa mu lutobazi ku kyalo Kyamaganda era ggombolola y’e Kisekka, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.
Okusinzira ku bazadde okuli David Ssekajjugo n’omukyala Josephine Namutebi, omwana yabula nga 17, Janwali, 2021, kyokka baaguddewo ekiggwo, okufuna amawulire, nti muwala waabwe yattiddwa.
Taata aludde ng’alumiriza muganda we Jimmy Ssekajjugo okwenyigira mu kutwala omwana we, okutuusa lwe yazuuliddwa ng’attiddwa, ekyatabudde abatuuze.
Oluvanyuma lw’okuzuula omulambo, abatuuze baalumbye Ssekajjugo kyokka wadde yasobodde okuddukira ku Poliisi, abatuuze baatemyetemye ebitooke byonna, okubba enkoko ssaako n’ebisolo bye.
Wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Masaka Muhammad Nsubuga agambye nti tebannafuna bujjulizi bwonna ku kya Ssekajjugo okwenyigira mu kutta omwana kyokka bo abatuuze bonna abenyigiddee mu kutwalira amateeka mu ngalo, bali mu kunoonyezebwa.