Akakiiko k’ebyokulonda kafulumiza ebyenkomeredde ebyava mu kulonda kw’omukulembeze w’eggwanga mu kulonda okwaliwo nga 14, omwezi guno.
Okusinzira ku birangiraddwa, ssentebe w’ekibiina ki NRM Yoweri Kaguta Museveni yawangulira waggulu n’obululu 6,042,898 ate Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ebyenkomeredde biraga nti yafuna obululu 3,631,437.
Abalala Pulezidenti w’ekibiina ki FDC Amuriat Oboi Patrick 337,589, Joseph Kabuleeta 45,424, omukyala yekka eyali mu lwokaano Kalembe Nancy Linda 38,772.
John Katumba ku myaka 24, yafuna obululu 37, 554, munnakibiina kya DP Nobert Mao 57,682, Mayambala Willy 15,014, ate munnakibiina kya ANT Gen Mugisha Muntu 67,574, Mwesigye Fred 25,483 nga Tumukunde Henry ebyenkomeredde yafuna obululu 51,392.
Okusinzira ku ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Omulamuzi Simon Byabakama mu ggwanga lyonna abantu 10,744,319 bebalonda omukulembeze w’eggwanga kyokka obululu 393,500 bwali bufu.
Mungeri y’emu agambye nti obululu 54,357 tebugattiddwa ku birangiriddwa olw’embeera eyava mu bitundu ebyo omuli effujjo, okwenyigira mu kubba akalulu, okubba ebyeyambisibwa mu kulonda ssaako n’ensonga endala.
Ebirangiriddwa Byabakama, biraga nti kabiite wa Bobi Wine Barbie Intungo aweddemu essuubi lya First Lady ate ye omuwagizi wa Pulezidenti Museveni aliisa buti.