Omulamuzi wa kkooti e Mengo Esther Nansambu agobye okusaba kwa munnakibiina ki NUP Fred Nyanzi okuddamu okubala obululu bwa Kampala Central ku ky’omubaka wa Palamenti.
Omulamuzi bw’abadde awa ensala ye agambye nti Nyanzi, okuddukira mu kkooti olw’ebigambo by’abantu nga talina bujjulizi, kkooti teyinza kukyesigamako okulagira okuddamu okubala akalulu.
Mungeri y’emu agambye nti kkooti ye, terina buyinza okuteeka mu nkola okusaba kwa Nyanzi era okusaba kugobeddwa.

Nsereko ne Nyanzi mu kkooti
Nsereko ne Nyanzi mu kkooti

Nyanzi yadduukidde mu kkooti, okuwakanya obuwanguzi bwa Muhammad Nsereko.
Kampala Central, Nsereko abadde mu ntebe nga yindipendenti yalangiriddwa ng’omuwanguzi nga yafunye obululu 16,998 ate Nyanzi yakutte kyakubiri n’obululu 15,975 nga yasingiddwa obululu 1,023.
Mu kkooti, Nyanzi agamba nti vvulugu, yalabikidde mu kubala akalulu nga yakulembeddwamu akakiiko k’ebyokulonda, ba Agenti ba Nsereko ssaako n’okukyusa ebyavudde mu kulonda wabula byonna bigobeddwa.

Oluvudde mu kkooti, Nyanzi agambye nti agenda kweyongerayo mu kkooti enkulu kuba tamatidde na nsalawo ya mulamuzi.