Bya Nakaayi Rashidah

Ssaabawagizi wa ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes Jackson Ssewanyana amanyikiddwa nga Uncle Money asindikiddwa mu kkomera okumala emyaka 4 ku misango gy’okwenyigira mu kutta ssemaka Siraje Akim Tumusiime eyali omutuuze mu zzooni y’e Kasubi mu disitulikiti y’e Kampala mu butanwa.
Uncle Money asimbiddwa mu kkooti ya Buganda Road mu maaso g’omulamuzi Miriam Akello Ayo era mu kkomera, asindikiddwayo ne mukwano gwe Benson Ssenyonga ku by’okutta Tumusiime.

Benson Ssenyonga ne Uncle Money mu kkooti
Benson Ssenyonga ne Uncle Money mu kkooti

Tumusiime yafa nga 15, August, 2019 oluvanyuma lw’okukubwa abantu mu ngeri emenya amateeka.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, Uncle Money yakwata Tumusiime okuva ku Royal Hotel e Kasubi namukwasa abantu abali bakulembeddwamu Ssenyonga ne bamukuba.
Tumusiime baamusiba emikono ssaako n’amaggulu ne bamukuba ku bigambibwa nti yali yenyigidde mu kubba essimu y’omu ku batuuze.
Wabula mukyala w’omugenzi, Joan Natukunda tamatidde na kusiba Uncle Money ne Ssenyonga emyaka 4, nga agamba nti babadde betaaga kufiira mu kkomera okusibwa obulamu bwabwe bwonna.

Mukyala w’omugenzi

Mungeri y’emu ne famire y’omugenzi egamba nti Tumusiime yalina abaana ate nga bonna bakyali bato kyokka okusiba Uncle Money emyaka 4, abaana tebafunye mazima na bwenkanya.

Famire Y’omugenzi