Abamu ku bannakibiina kya National Unity Platform (NUP) abaakwatibwa mu kiseera kya Kampeyini, bali mu maziga nga bagamba nti embeera eyabatuusibwako, bangi ku bo, tebakyalimu ndasi, okumatiza abakyala nga bali mu nsonga z’omukwano.
Bano bagamba nti, ebitongole ebikuuma ddembe byabatulugunya nga bakwattiddwa olw’okutambulira Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) era Kampeyini za 2021, zibalekedde obulemu, obwenkomeredde.
Waliwo omusajja ategerekeseeko erya Lule era agambye nti, bwe yali mu kkomera e Nalufenya abasirikale baamunyiga obusajja era kati tebukola bulungi.
Lule agamba nti baamunyiga nga bamusaba ‘Password’ y’essimu ne ‘Pin Code’ bwe yali akwattiddwa okuva mu Kampeyini za Kyakulanyi era mu kiseera kino mukyala we takyafuna bulungi ssanyu lya mu kisenge.
Ate omukyala omulala agaanye okwatuukiriza amaanya ge agambye nti okuva bwe yava mu kkomera e Tororo, akyali mulwadde ng’abasirikale bamutulugunya bubi nnyo.
Wabula omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga asabye abantu bonna abalina okwemulugunya okutwala ensonga yaabwe eri Poliisi okuyambibwa.
Aba NUP Bakaaba