Poliisi y’e Luweero ekutte munnansi wa Pakistan ku misango gy’okutulugunya omu ku bakozi be.

Musiga nsimbi akwattiddwa Lucky Shoabi nnanyini kutandikawo kampuni ekola ebintu eby’enjawulo omuli okutunda engatto, emisumaali gy’emmotoka, okwenyigira mu kulima mu zzooni y’e Kasana Mabanda mu Katawuni k’e Luweero.

Omukozi Christopher Mangenga myaka 20 agamba nti nga 15 Janwali, 2021, Shoabi ng’ali ne banne 2 baamukuba nga bamulumiriza okubba engatto.

Mangenga wakati mu ku lukusa amaziga, agamba nti baamutwala waggulu ku kizimbe ekya Kalina ne bamugyamu engoye zonna ne bamukuba emiggo, okumunyiga ebitundu by’ekyama ssaako n’okumusiba emiguwa nga balemeddeko okumusaba engatto zebagamba nti yali azibye.

Mu kiseera kino Mangenga alumizibwa mu kifuba, amaggulu, ebitundu by’ekyama ssaako n’emikono era y’emu ku nsonga lwaki addukidde ku Poliisi okuyambibwa.

Mangenga Final

Isah Semwogerere, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Savannah agambye nti Musiga nsimbi Shoabi akwattiddwa n’omu ku bakozi be Moses Yiga okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.

Semwogerere agamba nti tewali muntu yenna ali waggulu w’amateeka wadde Musiga nsimbi.

Semwogerere