Kkooti y’ensi yonna eya International Criminal Court (ICC) mu ggwanga erya Netherlands mu kibuga The Hague esingisiza eyali omuyekera wa Lord’s Resistance Army (LRA) emisango gy’okwenyigira mu kutyoboola eddembe ly’obuntu.

Mu kkooti, Dominic Ongwen, 45, asingisiddwa emisango 61 ku 70 egibadde gimuvunaanibwa.

Ku misango 6 kuliko obutemu, okusobya ku bakyala n’abaana, okuwamba abaana abato okubatwala mu buyekera, okutulugunya mu myaka gye 2,000.

Abalamuzi bagambye nti wadde Ongwen yawambibwa okuyingizibwa mu buyekera nga mwana muto, wakati wa 2002 ne 2005 ebikolwa byonna yabikola abigenderedde.

Omulamuzi Bertram Schmitt bw’abadde asingisa Ongwen emisango, agambye nti bakoze okunoonyereza ku misango gyonna era tewali kubusabuusa ku misango egimusingisiddwa.

Ongwen ayinza okusindikibwa kalaba wabula kkooti yakulangirira olunnaku lw’okumuwa ekibonerezo.

Ongwen eyali adduumira abayekera ba Joseph Kony  yakwatiddwa mu ggwanga lya Central African Republic mu January 2015.

Omulamuzi Bertram Schmitt