Ekitongole ekikuuma ddembe ekya Poliisi kivuddeyo ku bigambibwa nti munna kibiina kya National Unity Platform (NUP) Tumuhimbise Deus yabuzibwawo era mbu tamanyikiddwaako mayitire.
Ku mikutu migatta bantu, abagambibwa okuba abawagizi b’ekibiina ki NUP, bagamba nti Tumuhimbise abadde yatwalibwa abantu abatamanyiddwa oluvanyuma lw’okuziika Frank Senteza.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango agambye nti Tumuhimbise yakwatibwa ku misango gy’okutambuza ebicupuli bya ssente era ali mu kkomera.
Onyango agamba nti Tumuhimbise yakwatibwa nga 7, January, 2021 n’ebicupuli bya ddoola za America 5100 USD ku East Africa Plastic Products Company Ltd e Mbalala mu disitulikiti y’e Mukono.

Omusango gwatwalibwa ku Poliisi y’e Mokono namba CRB 067/2021 era yatwalibwa mu kkooti e Mukono, oluvanyuma Tumuhimbise yasindikibwa mu kkomera omulamuzi wa kkooti e Mukono okusibwa emyezi mukaaga (6) ku misango gy’okusangibwa n’ebicupuli ssaako n’obufere.