Akakiiko akali ku ddimu ly’okulwanyisa Covid-19 kafulumiza alipoota ku muwendo gw’abantu abafa mu kiseera kya Kampeyini wakati mu kunoonya abakulembeze okuva ku ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga lino.

Okusinzira ku kw’alipoota y’akakiiko, mu kiseera kya Kampeyini, abalwadde beyongera obungi ate ku bantu 327 abaakafa Covid-19, 215 bafudde mu kiseera kya Kampeyini.

Minisitule y’ebyobulamu eraga nti abantu 215 baafa wakati wa November 2020 ne January, 2021 mu kiseera nga Kampeyini zikutte wansi ne waggulu.

November abaafa baali 94, December 47 ate omwezi oguwedde ogwa January 74.

Abamu ku baafa kuliko eyali omubaka omukyala owe Paliisa Faith Alupo, omubaka omukyala owe Kamuli Rehema Watongola, omubaka omukyala owe Kyotera Robinah Ssentongo ssaako ne bba Joseph Ssentongo, muganda we Dorothy  Mukasa, eyali Ssaabaminisita ow’okubiri Alhajji Ali Kirunda Kivejinja ssaako n’abalala.

Ku nsonga eyo, Dr Misaki Wayengera, akulira akakiiko ka bannasayansi abali ku ddimu ly’okulwanyisa Covid-19, agamba nti Kampeyini ziraze nti abantu beyongedde okufa era singa Gavumenti eyongera okuta abantu okudda ku mirimu, omuwendo gw’abantu abagenda okufa gwolekedde okulinya.

Uganda mu kiseera kino yakazuula abantu abalwadde 39,848, ate abaakafuna obujanjabi bali 14,349 nga abali ku ddagala basigadde 25,172.

Dr.Wayengera