Bya Nakaayi Rashidah

Bannakibiina kya NUP 13 bakkiriziddwa okweyimirirwa kw’abo 49 abali mu kkooti y’amaggye ku misango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa mu ngeri emenya amateeka.

Abali mu kkooti, okuli Edward Ssebufu amanyikiddwa nga Eddie Mutwe, omuyimbi Bukeni Ali amanyikiddwa nga Nubian Li ssaako ne banaabwe 47, kigambibwa nga 3, omwezi oguwedde ogwa Janwali, mu bitundu bye Makerere Kavule mu zzooni y’omu Kigundu e Kawempe,  basangibwa n’amasasi magazine 4 ag’emmundu ya AK 47 mu ngeri emenya amateeka.

Wabula kkooti y’amaggye ey’abantu 7 ebadde ekulembeddwamu Lt.Gen.Andrew Gutti ku basibe 49, eyimbuddeko 13 abali mu mbeera embi, abetaaga okufuna obujanjabi ate abasigadde, kkooti yakuwa ensala yaayo sabiti ejja ku Mmande nga 15 omwezi guno Ogwokubiri.

Ku bayimbuddwa kuliko abakyala 9 n’abasajja 4 nga kikoleddwa okusobola okufuna obujanjabi kyokka abantu nga Eddie Mutwe, Nubian baziddwa ku limanda mu kkomera e Kigo ne Kitalya okutuusa ku Mmande.