Ekyekaango kibuutikidde abatuuze ku kyalo Banda, e Nakawa, omulambo gw’omusirikale bwe gusangiddwa nga gulengejja ku muti ku ssaawa nga emu ey’okumakya ga leero okumpi n’ekisaawe ky’essomero lya St. Paul primary school e Banda.

Omusirikale James Ochan, okuva mu kitongole kya mazzi n’obutonde bw’ensi, kati z’embuyaga ezikunta.

Poliisi okuva ku Jinja Road ng’ekulembeddwamu Robert Katulamu esobodde okwekebejja ekifo wabula kiteebereza nti omusirikale waabwe yattiddwa nga bamunyodde ensingo oluvanyuma ne bamuwanika waggulu ku muti okulaga nti yeetuze.

Poliisi esobodde okuleeta embwa, okwekebejja ekifo wabula eremeddwa okuzuula ekintu kyonna olw’abatuuze, okusanyawo obujjulizi nga basambiridde ekifo.

Katulamu agamba nti okusinzira ku sayizi y’omusirikale ssaako n’omuguwa ogumusangiddwamu, tewali kubusabuusa kwonna yattiddwa.

Abatuuze nga bakulembeddwamu Christine Baguma, bagamba nti ebiriwo biraga nti omusirikale yattiddwa mu kifo kirala.

Ate omubaka omulonde owe Nakawa East Ronald Balimwezo Nsubuga awanjagidde ebitongole ebikuuma ddembe okwongera amaanyi mu kulawuna obudde obw’ekiro, okusobola okulwanyisa ebikolwa by’ettemu.

Ate amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire agambye nti omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa nga Poliisi bwenoonyereza.