Waliwo ennyonyi ya UPDF ekika kya Jet Ranger egudde emisana ga leero ku ssaawa ku nga 8 okumpi ne Beach ya Lido Entebe.
Okusinzira ku mwogezi w’ekitongole ky’amaggye Brig Gen Flavia Byekwaso, ennyonyi ebaddemu abantu 2 abali mu kutendekebwa era egudde nga bakayimuka mu bbanga.
Mungeri y’emu agambye nti bonna abagibaddemu, batwaliddwa malwaliro nga bali mu mbeera mbi okutaasa obulamu nga n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku nnyonyi, kitandiise okunoonyereza ekivuddeko akabenje.
Ebifaananyi bya NBS