Poliisi y’e Kakiri eri mu kunoonya omusomesa ku misango gy’okusobya ku muyizi we nga 9, February, 2021.

Edward Mulindwa omusomesa ku Naggulu UMEA yanoonyezebwa ku by’okusobya ku muyizi ali mu kibiina kya P7.

Kigambibwa Mulindwa yayise omuyizi okumuwa empapula z’ebibuuzo okwegezaamu okusobola okuyita obulungi ebibuuzo bya PLE ebisembedde  kyokka n’amwefuulira era amangu ddala yamusobezaako.

Moses Mulamuzi, akulira okunoonyereza ku misango ku Poliisi y’e Kakiri agambye nti balina okunoonya Mulindwa wadde aliira ku nsiko mu kiseera kino atwalibwa mu kkooti ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.

Abazadde b’omwana basabye Poliisi okunoonya Mulindwa ng’omwana we yetaaga okufuna amazima n’obwenkanya.

Omwana agamba nti Mulindwa yamusobezaako mu nsiko bwe yabadde amusuubiza okumutwala okukola ebigezo by’okwegezaamu ku ssomero lya Mikka Parents kyokka oluvanyuma yamutegeezeza, agenda kumutwala waka kyokka wakati nga bagenda awaka, kwe kumutwala mu nsiko.