Barbie Itungo alaze bba Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) nti musajja wanjawulo nnyo ku basajja abalala era akoze kinene nnyo mu kunyusa obulamu bwe.

Barbie agamba Bobi Wine amuyigiddeko ebintu bingi era yebazza Katonda okumuwangaaza emyaka 39.

Bwe yabadde ku mukolo gw’okusaba nga Bobi Wine ajjaguza amazaalibwa ge mu sitayiro mu maka gaabwe e Magere mu Tawuni Kanso y’e Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso yagambye nti, “The Older you grow the better you become just like your Name Wine“.

Mungeri y’emu asabye Omutonzi okuwaanza bba Bobi Wine okusobola okwongera okumuyigirako ebintu eby’enjawulo kuba teyejjusa kumusembeza mu bulamu bwe.

Eddoboozi lya Barbie