Omuyimbi munnansi wa America Beyoncé Giselle Knowles-Carter amanyikiddwa nga Beyonce ayongedde okulumya abasajja wakati mu kwongera okumanyisa abantu ebikwata ku ‘Ivy Park collection’, awasangibwa ebika by’engoye ez’enjawulo.
Beyonce wadde muyimbi w’amaanyi mu nsi yonna n’okusingira ddala mu ggwanga lye America asobodde okweyambisa amakubo ag’enjawulo omuli enkolagana ye ne Kampuni omuli Adidas okwongera okunoga ssente mu bawagizi be.