Abatuuze ku kyalo Nalugala mu Tawuni Kanso y’e Katabi Entebe, bakyali mu kiyongobero, olw’abatemu okutta mutuuze munaabwe ku ssaawa nga 3 ez’ekiro, ekikeeseza olwaleero.
Omukyala Nambi Bogiya myaka 30, owa Mobile Money, akubiddwa amasasi agaamutiddewo bw’abadde asemberedde okutuuka awaka.
Poliisi egamba nti mu kwekebejja ekifo, wasangiddwawo ebisosonkole by’amasasi 3 era bikwasiddwa abakugu, okuyambako mu kunoonyereza.
Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agambye nti abazigu, baatutte ssente ezitamanyiddwa era okunoonyereza ku bazigu n’ekika ky’emmundu eyakozeseddwa, kutandikiddewo.
Mungeri y’emu asabye abatuuze okusigala nga bakakamu wabula okuyambako ku Poliisi mu kunoonyereza.