Wuuno Pasita sseduvuto akwattiddwa ku by’okusobya ku mwana myaka 10!
Poliisi y’e Kayonza mu disitulikiti y’e Kayunga ekutte Pasita Zadoki Biketi myaka 43 ku misango gy’okusobya ku mwana wa muganda we myaka 10 gw’abadde alabirira.
Pasita Zadoki yasumba ekkanisa ya Miracle Centre ku kyalo Nyondo mu ggoombolola y’e Kayonza yakwattiddwa.
Ku Poliisi, wakati mu kwewozaako agambye nti, ebyogerwa nti yasobeza ku mwana, bigendereddwamu kusiiga linnya lye nziro n’okumulwanyisa kyokka tagenda kubikkiriza.
Pasita asuubiza okuteekamu ssente ze, omwana okwekebejjebwa okusinga okumusibira obwereere.
Omwana wadde amannya gasirikiddwa, agiddwako sitetimenti ku Poliisi era akkiriza nti Pasita Zadoki yamusobezaako namusuubiza okumutta, singa ategezaako omuntu yenna.
Wabula addumira Poliisi y’e Kayonza Bbosa Leonard agamba nti Pasita okukwatibwa, kidiridde abatuuze okutegeeza ku Poliisi.
Bbosa agamba nti omwana, wakutwalibwa mu ddwaaliro okwekebejjebwa abasawo, okuzuula ekituufu oba ddala Pasita yamusobezaako.
Poliisi esobodde okutaasa omuvubuka okufa era atwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago ng’ali mu mbeera mbi, bwe yefumise akambe mu lubuto olw’okutya abatuuze okumutta.
Anthony Mwanje ali mu gy’obukulu 25, asangiddwa muzigo gw’omutuuze Brenda Nassali omutuuze mu zzooni ya Kalule e Kawempe bw’abadde ayingidde okubba.
Nassali bw’amusanze mu nnyumba ye, asobodde okuggala oluggi era amangu ddala asobodde okuyita abatuuze.
Wabula abatuuze bagenze okutuuka, Mwanje asangiddwa ku ttaka nga yefumise akambe mu lubuto era bwatyo, asobodde okusimatuka emiggo gy’abatuuze wabula okuyita abakulembeze ku kyalo nga bakulembeddwamu akulira ebyokwerinda Hussein Abdul okutaasa obulamu.
Nassali alambuludde engeri mwanje gyakwatiddwamu.
Ate abatuuze bagamba nti obubbi bweyongedde mu kitundu kyabwe nga kivudde ku bantu nga Mwanje obutagala kukola.
Abatuuze bawanjagidde ebitongole ebikuuma ddembe omuli Poliisi n’amaggye okwongera amaanyi mu kulawuna obudde bw’ekiro olw’ababbi okweyongera mu kitundu kyabwe ngta batwala ebintu eby’enjawulo.
Wabula amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire agamba nti Mwanje atidde abantu okumutta era y’emu ku nsonga lwaki yefumise akambe.
Owoyesigyire agamba nti Mwanje ali mu ddwaaliro ekkulu e Mulago wakati mu byokwerinda byabwe.