Ssegirinya akwattiddwa ng’omubbi w’akassimu mu Kampala, era bamututte alajjana wooowe nze.
Poliisi mu Kampala ekutte omubaka omulonde owe Kawempe North Mohammed Ssegirinya ku Mini Price mu Kampala.
Ssegirinya abadde agezaako, okulemberamu abantu okwekalakaasa okubanja bannakibiina ki National Unity Platform-NUP abazze bakwattibwa, abali mu mikono gy’ebitongole ebikuuma ddembe omuli Poliisi n’amaggye.
Ssegirinya wadde abadde ayambadde essuuti eya Bbulaaka, essaati njeru ssaako ne ttaayi emyufu, bamututte alajjana, “muyimbule abantu baffe abazze bakwattibwa”.
Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agambye nti Ssegirinya atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi mu Kampala ekya CPS.
Owoyesigyire mungeri y’emu agambye nti Ssegirinya aguddwako emisango omuli okukuma omuliro mu bantu era wakutwalibwa mu kkooti oluvanyuma lwa Poliisi okukomekereza okunoonyereza.
Aba NUP bagamba nti bangi ku bawagizi baabwe bakwattibwa ku misango emijweteke era balina okulwana okutuusa nga bonna bayimbuddwa.
Okuva sabiiti ewedde, Ssegirinya abadde mu mawulire ku bigambibwa nti talina buyigirize.
Ssegirinya yatwaliddwa mu kkooti Sulaiman Kidandala ku bigambibwa nti talina mpapula za buyigirize wabula agamba nti ebiwandiiko byonna ebyetaagisa okuwangula omusango abirina era tewali ayinza kumulemesa kugenda mu Palamenti.

Mu biwandiiko ebyavudde mu kitongole ky’ebigezo ekya Uganda National Examinations Board -UNEB, biraga nti mu ebigezo bya S4 mu 2007 ku Index Number U0053/054 by’agamba nti, yabikolera mu Pimbas Secondary School ate ebiri mu UNEB biraga nti Index Number eyo ya muwala Sarah Nampiima eyatuulira ebigezo mu Mengo Secondary School.
Ate ebya S6 ebiwandiiko bya Ssegirinya ebiraga nti S6 yagituulira ku Index Number UOO54/754 mu ssomero lya Pimbas S.S mu 2009, ebya UNEB biraga nti eyatuulira mu nnamba eyo ye Maureen Nabadda era nga naye yatuulira ebigezo mu Mengo Secondary School mu Kampala.

Mu ngeri y’emu UNEB egamba nti ennamba U0054 ya Mengo Secondary School, ssi Pimbas Secondary School wabula Ssegirinya agamba nti alina ebiwandiiko ebituufu era alinze kubyanjulira kkooti.
Mu kulonda nga 14, Janwali, 2021, Ssegirinya eyali alina kaadi ya NUP yakawangulira waggulu n’obululu 41,197 n’addirirwa Kidandala eyafuna obululu 7,512. Tom Fisher Kasenge owa National Resistance Movement (NRM) yakwata kyakusatu n’obululu 6,946 ate Latif Ssebaggala Ssengendo abadde akiikirira ekitundu ekyo n’akwata kyakuna n’obululu 3,919.
Mu kiseera kino Ssegirinya ali mu maziga wooowe nze kuba ebizibu bimwetolodde.