Bobi Wine bamutabukidde lwa kkooti, abasajja bazizza omuliro!

Ekitongole ekiramuzi kisabye Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform-NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okukomya okusasamaza eggwanga ku nsonga ezigenda mu maaso mu kkooti n’okusingira ddala mu kkooti ensukkulumu.

Kyagulanyi, agamba nti ebigenda mu maaso mu kkooti ensukkulumu wakati wa ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo n’omulamuzi Esther Kisaakye, kabonero akalaga nti kkooti eyongedde okuyuuga era omuliro gweyongedde mu kkooti.

Omulamuzi Kisaakye, sabiiti ewedde yalemwa okusoma ensala ye, ku bya Kyagulanyi okuggya omusango mu kkooti ogw’ebyokulonda era agamba nti ssaabalamuzi Owiny-Dollo yawamba fayiro ye n’okuteekawo embeera okumulemesa.

Kyagulanyi agamba nti vvulugu ali mu kkooti ensukkulumu, y’emu ku nsonga lwaki yaggyayo omusango gwe.

Wabula omwogezi w’ekitongole ekiramuzi Solomon Muyita, agamba nti Kyagulanyi, y’omu ku bannayuganda abegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga lino era yandibadde akola nnyo, okutebenkeza ekitongole ekiramuzi okusinga okubuzabuuza abantu n’okumala gamansa ebigambo.

Eddoboozi lya Muyita

Muyita agamba nti buli munnayuganda yetaaga ekitongole ekiramuzi era Kyagulanyi alina kuyambako okulongoosa ebikyamu mu kitongole ekiramuzi okusinga okweyambisa ebigambo ebiweebula.

Muyita

Kyagulanyi agamba nti okumulemesa okutwala obujulizi obulala mu kkooti, y’emu ku nsonga lwaki yaggya omusango mu kkooti gwe yali yatwalayo ng’awakanya obuwanguzi bwa ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kagata Museveni ku bwa Pulezidenti bwa Uganda mu kulonda kwa 14, Janwali, 2021.

Ate mu disitulikiti y’e Masaka, omulonzi Martin Henry Bazzanya addukidde mu kkooti enkulu okusaba okusazaamu obuwanguzi bwa Richard Ssebamala, omubaka omulonde owe Bukoto Central.

Ssebamala yawangula amyuka omukulembeze w’eggwanga lino Edward Kiwanuka Ssekandi eyali yesimbyewo ekisanja eky’okutaano (5).

Edward Kiwanuka Ssekandi

Okusinzira kakiiko k’ebyokulonda, Ssebamala owa Democratic Party-DP yafuna obululu 9,916 ate Ssekandi owa National Resistance Movement-NRM 4,902.

Wabula Bazzanya agamba nti Ssebamala teyalondebwa mu mateeka, agamba nti Ssebamala ne bagenti be, benyigira mu ffujjo, ekintu ekimenya amateeka.

Mungeri y’emu agamba Ssebamala yasunsulwamu nga talina biwandiiko bya buyigirize, ekiraga nti tagwanidde kukulembera kitundu kyabwe.

Bazzanya era agamba nti Ssebamala yalimba nti mulonzi ku kisaawe kye Luvunja mu ggoombolola y’e Kyesiiga ate nga alondera ku St. Modesta Primary School e Bisanje mu ggoombolola y’e Kimanya-Kabonera mu kibuga kye Masaka.