Tukooye Bakama baffe okutukozesa buli kiro ku buwaze, abakozi b’awaka baloope mu Palamenti.

Abakozi b’ewaka abegattira mu kibiina kyabwe ekya Domestic Workers Association Uganda, bawanjagidde Palamenti y’e 10 ebalowozeeko, nga tenafundikira Palamenti yabwe mu gwokutaano 2021, bayise enoongosereza mu tteeka erikwata ku bakozi erya Employement Amendment Bill 2019.

Okusinzira ku muwandiisi w’ekibiina kyabwe Athieno Florence, abakozi ab’awaka bayita mu kusomoozebwa okutagambika omuli okufuna omusaala omutono, okusobezebwako abaana b’awaka ssaako ne bakama baabwe (Bakama baffe) , okutyoboola ekitiibwa kyabwe nga ne ku mirimu, bayisibwa ng’ekyokuttale.

Mungeri y’emu bagambye nti amateeka obutabaawo okulambika abakozi b’awaka, y’emu ku nsonga lwaki n’emirimu gyabwe, gitwalibwa nga eky’omuzannyo n’okuyisibwamu amaaso.

Athieno Florence

Abakozi basinzidde mu Palamenti akawungeezi ka leero, era bagamba nti, embeera ebatusibwako wakati mu kutambuza emirimu gyabwe y’emu ku nsonga lwaki bangi ku banaabwe benyigira mu kutulugunya abaana babakama baabwe omuli okubookya amazzi agookya ssaako n’okutta abamu.

Mu kutwalira sipiika Rebecca Kadaga ekiwandiiko, bakulembeddwamu Ssentebe w’ekibiina ekigatta Ababaka abakyala mu Palamenti y’eggwanga ekya Uganda Women Parliamentary Association-UWOPA Pamela Kamugo.

Kamugo, akubirizza abakozi b’awaka okubeera n’empisa ssaako n’obuguminkirizza.

Kadaga asuubiza nti Palamenti eganda kuyingira mu nsonga zaabwe, ebbago ku nsonga z’abakozi likolebweko era omubaka Agnes Kunihira yasuubira okulyanjula essaawa yonna.

Ate munnakibiina ki National Unity Platform (NUP) era Kansala omulonde owe Rubaga North James Mubiru, aguddwako emisango gy’okusangibwa n’ebintu by’amaggye mu ngeri emenya amateeka.

Mu kkooti y’amaggye ebadde ekubirizibwa Lt General Andrew Gutti, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Ambrose Guma lugamba nti nga 18, November, 2020 mu bitundu bye Nakulabye mu Kampala, Mubiru yasangibwa ng’ayambadde enkofiira emyuufu eyakazibwako erya  ‘beret’, eteekeddwa okuba ey’ekitongole ky’amaggye.

James Mubiru

Mu kkooti, omutakkiriziddwa bannamawulire ne bannamateeka be, Guma asabye kkooti okwongezaayo omusango okubasobozesa okufundikira okunoonyereza.

Wabula Mubiru asobodde okufuna munnamagye akoze nga munnamateeka we mu kkooti Major Kamanda Silas Mutungi era omusango agwegaanye.

Mubiru mu kkooti y’amaggye

Mubiru asindikiddwa mu kkomera ly’amaggye e Makindye okutuusa nga 13, April, 2021.

Mubiru okutwalibwa mu kkooti, kigyeyo ebigambo ebibadde biyitingana ku wikendi nga yafudde oluvanyuma lw’okuwambibwa ne bamutulugunya.