Omusajja yansose omutwe gwa waaya era mpulira obulumi – Ssegirinya akaabye nga bamutwala mu kkomera lwa kwekalakaasa.

Muhammad Ssegirinya, eyalondeddwa ng’omubaka we Kawempe North asindikiddwa ku Limanda mu kkomera e Kitalya okutuusa nga 8, April, 2021.

Ssegirinya munnakibiina ki National Unity Platform (NUP) yakwattiddwa olunnaku olw’eggulo ku Mmande nga 22, March, 2021 ku Mini Price mu Kampala bwe yabadde akulembeddemu banne okwekalakaasa, okusaba ebitongole ebikuuma ddembe omuli Poliisi n’amaggye okuyimbula abantu bonna abannakibiina ki NUP abazze bakwattibwa.

Akawungeezi ka leero, Ssegirinya asimbiddwa mu kkooti ya Buganda Road mu maaso g’omulamuzi Gladys Kamasanyu era asindikiddwa ku limanda ku misango gy’okukuma omuliro mu bantu.

Ssegirinya mu kkooti

Mu kkooti, Ssegirinya abadde akikiriddwa munnamateeka we Shamim Malende (omubaka omukyala omulonde owa Kampala) ate oludda oluwaabi lukulembeddwamu Jackline Akao era bagamba nti bakomekereza okunoonyereza nga balinze kkooti okuteekawo olunnaku, okuwuliriza omusango.

Ssegirinya ku Buganda Road

Ssegirinya nga tebannaba kumulinyisa mmotoka okutwalibwa e Kitalya, agambye nti asigadde mugumu wadde aguddwako omusango.

Eddoboozi lya Ssegirinya

Mungeri y’emu agambye nti yabadde alwanirira muntu wawansi nga kyewunyisa omulamuzi Kamasanyu okumusindika mu kkomera okutuusa nga 8, April, 2021.

Ssegirinya akulukusiza amaziga ku mutima era agambye nti olunnaku olw’eggulu, Poliisi bwe yabadde emukwata okumutwala ku kitebe kya Poliisi mu Kampala ekya CPS, “Omusajja yansose omutwe gwa waaya era mpulira obulumi”.

Agamba nti yakubiddwa nnyo era yenna alumizibwa omubiri gwonna nga ne mu kaduukulu ka Poliisi yalumiddwa ebiku ekiro kyonna.

Mu ngeri y’emu bannakibiina ki NUP abaakwattibwa nga bagezaako, okwekalakasa mu bitundu bya Kampala ku ntandiikwa y’omwezi guno Ogwokusatu, bayimbuddwa kakalu ka kkooti.

Mu kwekalakaasa, baali bawakanya ensonga ez’enjawulo omuli okubanja ebitongole ebikuuma ddembe okuyimbula abantu abazze bakwattibwa, okuwakanya eky’okutwala abantu babuligyo mu kkooti y’amaggye ssaako n’okulemerako nti Pulezidenti w’ekibiina kyabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), yawangula obukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda kwa 14, Janwali, 2021.

Banno 13, basimbiddwa mu kkooti ya Buganda Road mu maaso g’omulamuzi Fredilis Ottwawo nga basinzira ku ntambi (videoconferencing) mu kkomera e Kitalya ssaako ne Kigo.

Oluyimbuddwa, aba famire ne mikwano gyabwe basigadde mu maziga.