Kyaddaki Poliisi ebakutte ku by’okutta Empologoma, ebizibiti bisangiddwa wansi w’omuti era giwunye.
Poliisi ekutte abantu basatu (3) ku misango gy’okutta Empologoma mukaaga (6) mu Queen Elizabeth national park.
Empologoma zattiddwa akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano nga 19, March, 2021 ku kyalo Ishasha sector mu ggoombolola y’e Kihihi mu disitulikiti y’e Kanungu.
Oluvanyuma lwe Empologoma okuttibwa, ebitundu byazo eby’enjawulo omuli emitwe, ebigere, emikira ne bibuumba byatwalibwa.
Mungeri y’emu waliwo n’ebisolo munaana (8) ebyalya ku Empologoma nga zifudde, ebyasangibwa nga bifudde, ekyaleka abakulu mu kitongole ekivunaanyizibwa ku bisolo by’omu nsiko ekya Uganda Wildlife Authority (UWA) n’abakulu mu bitongole ebikuuma ddembe mu disitulikiti y’e Kanungu nga basobeddwa.
Wabula akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Mmande aba UWA, ekitongole ky’amaggye ekya Uganda Peoples Defense Forces (UPDF) ne Poliisi nga bakulembeddwamu Hajji Shafique Ssekandi, Resident District Commissioner (RDC) we Kanungu n’omumyuka we Gad Ahimbisibwe Rugaju n’akulira Queen Elizabeth National park Pontious Ezuma benyigidde mu kikwekweeto mu bitundu bye Rusoroza mu ggoombolola y’e Kihihi, okunoonya abasse Empologoma.
Akawungeezi ka leero ku Lwokubiri, Ssekandi agambye nti waliwo abafunye abatemeza ku Poliisi era mu kikwekweeto, Poliisi yakutte omusajja eyakulembeddemu okutta Empologoma.
Ssekandi agamba nti omukwate yakulembeddemu ebitongole ebikuuma ddembe okubatwala ku kyalo Tukundane mu muluka kwe Rusoroza mu ggoombolola y’e Kihihi okubalaga ebitundu bye Mpologoma nga bikwekeddwa wansi w’omuti gw’omuyembe.
Mungeri y’emu agambye nti emitwe gy’empologoma 2 gisangiddwa nga giwanikiddwa waggulu ku muti gw’omuyembe ate emitwe emirala n’ebintu ebirala nga bizikiddwa wansi mu ttaka n’amafumu.
Oluvanyuma omukwate yakulembeddemu Poliisi okubatwala ku banne babiri (2) era amangu ddala bakwatiddwa kyokka Ssekandi agaanye okwatuukiriza amaanya gaabwe nga kiyinza okutaataganya okunoonyereza kwabwe omuli n’okubalemesa okukwata abantu abalala, abali emabega w’okutta Empologoma.
Abakwate basobodde okutwala Poliisi okuzuula ekidomola kya buto akamuddwa okuva mu byenda bye Mpologoma oluvanyuma lw’okufumbibwa ng’abadde wakutundibwa.
Gad Ahimbisibwe Rugaaju, amyuka RDC we Kanungu agambye nti abakwate batwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Kanungu, okuyambako Poliisi mu kunoonyereza. Agamba nti abakwate singa bagyema okuwa Poliisi amawulire, bagenda kusindikibwa mu Kampala okubagyamu amawulire kuba kati kyaddaki giwunye.