Wuuno taata bamukutte ali mu kaboozi ne muwala we, abatuuze balidde obuwuka.
Abatuuze mu ssaza lye Imo mu maserengetta g’eggwanga erya Nigeria bakutte ssemaka ng’ali mu kaboozi ne muwala we.
Ssemaka Chinomso Okonkwo myaka 44 asangiddwa lubona ng’ali mu kusinda mukwano n’omwana we gwe yezaalira ali mu gy’obukulu 15.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, Orlando Ikeokwu, omu ku batuuze ate nga neyiba yawulidde amaloboozi agava mu nnyumba ag’abantu abali mukwano ate nga ssemaka aliwo yekka ne muwala we, kwe kutemya ku Poliisi.
Poliisi egenze okutuuka nga taata, ali mu kutendereza muwala we nga basukkiridde obuka mu nsonga z’omu kisenge okusinga ku nnyina.
Amangu ddala akwattiddwa, era Poliisi agambye nti,naye asobeddwa ate okudda ku mwana we, okumukozesa.
Omwana wakati mu kulukusa amaziga olw’okuswala, agamba nti kitaawe abadde yamufuula mukyala we nnamba bbiri (2) nga yamusuubiza okumutta singa ategezaako omuntu yenna.
Omwana agamba nti kitaawe abadde amukozesa emirundi egiwera ssaako n’okuleeta mikwano gye era ku nsonga zezimu ez’okwegata singa bamuwaayo akasente.
Wabula Poliisi egumizza abatuuze era esuubiza okunoonyereza okuzuula amazima.
Ate omuyimbi Omumerica Earl Simmons amanyikiddwa nga DMX myaka 50 akyali mu ddwaaliro mu kibuga New York, okusinzira ku munnamateeka we Murray Richman.
DMX yatwaliddwa mu ddwaaliro akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano ku ssaawa nga 5 ez’ekiro okuva mu makaage mu bitundu bye White Plains nga kivudde ku mutima okufuna obuzibu era bamutwalidde mu Ambulensi.
Richman agamba nti DMX ali mu mu kasenge akagyanjabirwamu abalwadde abayi (ICU).
Mungeri y’emu agamba nti abasawo bali mu kunoonyereza ku kyavuddeko omutima okufuna obuzibu okuva DMX abadde naye okuva ng’ali mu myaka 25.
Munnamateeka Richman asabye bannansi okusigala nga basabira DMX okudda obulungi engulu okusinga okwebuuza ebibuuzo ku kyavuddeko omutima okufuna obuzibu.
DMX yali w’amaanyi nnyo mu myaka gya 1999 olw’ennyimba ze omuli Party Up, Lord Give me a Sign, Get at Me Dogs, Let me Fly, Stop Being Greedy n’endala.