Palamenti ewuninkiridde akawungeezi ka leero, Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odongo bw’abadde alambulula alipoota ku bantu abagambibwa nti bazze babuzibwawo okuva omwaka oguwedde ogwa 2020 nga tusemberedde okulonda
Minisita agamba nti abantu 423 abatamanyiddwako mayitire, ab’obuyinza baakitegeddeko nti abantu abo, batya okukwatibwa olw’emisango gyebaza ne baduukira mu byalo ne bekweka.
Alipoota ya Minisita Odongo yagifulumya oluvanyuma lw’okulonda nga 14, Janwali, 2021 nga kivudde ku bantu abaali banoonyezebwa era akawungeezi ka leero, kwayongedde okulambulula kwebyo, ebivudde mu kunoonyereza.
Minisita Ondongo mu ngeri y’emu agambye nti mu kwekalakaasa okwali mu bitundu bye ggwanga eby’enjawulo nga 18 ne 19, November, 2020, olwa Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okukwatira mu disitulikiti y’e Luuka, ebitongole ebikuuma ddembe byakwata abantu 1,035.
Minisita agamba nti abantu abo, baggulwako emisango egy’enjawulo era abamu bali ku Limanda mu kkomera ag’enjawulo ate abalala bayimbulwa Poliisi ne kkooti ku bukalu bwazo.
Mu nnaku 2 ng’abantu bekalakaasa, Minisita agamba nti abantu 45 bokka bebattibwa era bejjusa, okweyambisa eryannyi erisukkiridde nga waliwo n’abantu baabwe abakangavulwa.
Wabula Abakiisa ba Palamenti nga bakulembeddwamu ow’e Kawempe North Latif Ssebaggala, Omubaka omukyala ow’e Amuru Lucy Akello, akulira oludda oluvuganya Betty Aol Ochan, Omubaka w’e Kasese Robert Centenary n’abalala bakubye ebituli mw’alipoota ya Minisita Odongo gayongedde okufulumya akawungeezi ka leero.
Bano bagamba nti Minisita asukkiridde obulimba n’okuwudiisa bannayuganda ku nsonga ezigenda mu maaso mu ggwanga.
Nga tukyali ku Palamenti, sipiika Rebecca Kadaga addukiridde abazadde b’omwana Amos Ssegawa eyakubwa amasasi agaamutirawo nga 19, November, 2020 mu kwekalakaasa okwali mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo nga bakutte Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine).
Ssegawa eyali mu gy’obukulu 15 yali mu S2 ku Lubiri High School ettabi lye Buloba, y’omu ku bantu abasukka 40 abattibwa mu kwekalakaasa okwali mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
Ku Mmande ya sabiiti eno, maama w’omugenzi Hajara Nakitto yekalakaasiza ku Palamenti y’eggwanga nga bw’akutte ekipande okuwandikiddwa “Twetaaga bwenkanya, Poliisi yamutta, wumula mirembe Ssegawa Amos”, ssaako n’okusaba okusisinkana sipiika.
Wabula enkya ya leero, Nakitto ne bba Meddie Ssemugenyi, banjulidde sipiika Kadaga ensonga zaabwe omuli obutafuna bwenkanya ku mwana waabwe eyattibwa ate nga n’embeera, eyongedde okubanyigiriza omuli okubagoba mu nnyumba.
Wabula sipiika Kadaga asobodde okuwa abazadde miriyoni emu nga naye bw’alondoola ensonga zaabwe.
Kadaga atabukidde amyuka omudduumizi wa Poliisi mu ggwanga Erasmus Twaruhuka, olw’ekitongole kya Poliisi okulemwa, okuyingira mu nsonga za Ssegawa eyattibwa ssaako n’abazadde okufuna obw’enkanya.
Amulagidde, okumutegeeza ku nsonga ezo ate mu bwangu.
Okufuna amawulire amalala – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/3940642086015108