Ate e Kamuli, Poliisi ekutte omukyala Mary Nakayima ali mu gy’obukulu 37, omutuuze ku kyalo Bulangila mu Monicipaali y’e Kamuli ku misango gy’okutta bba Paul Binoga myaka 40.
Binoga, afumitiddwa ekigambibwa okuba ekiso ku mutwe, mu lubuto ssaako n’okusalwako ebitundu by’ekyama.
Abatuuze bagamba nti omukyala Nakayima ne bba Binoga kati omugenzi baludde nga balina obutakaanya ng’omukyala alumiriza bba, okulemwa okubaako kyakola mu nsonga z’omu kisenge wabula okufuluuta okutuusa ku makya.
Omukyala agamba nti omusajja, abadde yazira akaboozi kyokka abadde alina abakyala abalala, gy’agenda okunoonya essanyu ly’okusanyusa ebitundu by’ekyama.
Wabula oluvanyuma lw’okutta omusajja, omukyala Nakayima yetutte ku Poliisi era mu kiseera kino ali ku kitebe kya Poliisi e Kamuli ku misango gy’okutta omuntu.
Edisa Nabirye, omu ku batuuze, agamba nti wadde omukyala abadde alumwa olw’obutafuna ssanyu lya mu kisenge, eky’okutwalira amateeka mu ngalo okutta omusajja, yakoze nsobi, yaleese ebisiraani mu famire, ebigenda okutawanya abaana.
Omukyala Nakayima abadde yakazaalira bba abaana mukaaga (6) era ku Poliisi abaana balumiriza nnyabwe okutta kitaawe mu maaso gaabwe.
Ku nsonga eyo, Michael Kasadha, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Busoga North, agambye nti omukyala ali mu mikono gyabwe era Poliisi etandiise okunoonyereza.
Ate Poliisi y’e Kiira eri mu kusamba ensiko okunoonya omutemu, eyasse omwana myaka musanvu (7) ku kyalo Kagoma gate mu Tawuni Kanso y’e Kakira mu disitulikiti y’e Jinja.
Abdullah Weyeye myaka 7 yatemeddwako omutwe, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna bwe yabadde ne baana banne bataano (5) nga bali mu kulunda Nte.
Omutemu, yabasanze nga bali mu kugoba nte kuzizza waka, nakwata Weyeye namusalako omutwe era amangu ddala yayingidde esamba ly’ebikajjo erya Kakira.
Taata w’omugenzi Lazalo Wabumba wakati mu kulukusa amaziga, agambye nti yategeezeddwa ku ky’okutta mutabani we ku ssaawa 12:30 ez’akawungeezi, kwe kunoonya omutemu ng’ali ne batuuze banne kyokka yabuze.
Ate Amuza Wetaka omu ku batuuze, awanjagidde ebitongole ebikuuma ddembe okwongera amaanyi mu byokwerinda ssaako n’okubayamba okunoonya omutemu, eyasse omwana mu ngeri y’obukambwe, akangavulwe.
Ate Abbey Ngako, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira agambye nti okunoonya omutemu, kukyagenda mu maaso mu kiseera kino n’okuzuula ekigendererwa lwaki yasse omwana omuto.