Pulezidenti wekibiina ki National Unity Platform-NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alabudde abakulembeze mu kibiina okwewala embeera y’okwejjalabya mu bulamu bwa buligyo nga kiyinza okutta enkolagana yabwe n’abantu babuligyo.
Bwe yabadde ayogerako eri abakulembeze mu kibiina mu lusirika ku Nile resort hotel mu disitulikiti y’e Jinja, Kyagulanyi yasabye abakulembeze okusoosowaza ebinyigiriza abantu.
Yabasabye okwewala okuvuga emmotoka z’ebbeeyi amangu n’okweyisa mu ngeri yonna eyinza okubawula ku bantu kuba kiyinza okukosa ekibiina n’obuwagizi bwabwe.
Kyagulanyi alabudde abakulembeze okweyambisa ssente zebagenda okufuna nga batuuse mu bukulembeze omuli Palamenti okuzisiga obulungi mu bintu ebiyinza okubayamba okwekulakulanya n’abalonzi baabwe okuyambako mu kulwanyisa obwavu n’okukyusa embeera z’abantu okusinga okudda mu kwejjalabya.
Agamba nti bangi ku bannakibiina bafuna obuwagizi bwa ssente mu kiseera kya Kampeyini era kye kiseera okwewala okukola ebiyinza okuswaza ekibiina ssaako n’abo ng’abakulembeze wabula okukola ebiyinza okuleeta enkulakulana eyanamaddala mu bitundu byabwe.
Mungeri y’emu abakutidde okwewala okwenyigira mu kubba ssente z’eggwanga mu ngeri y’okulya enguzi wabula okwenyigira mu kutumbula enfuga ya dimokulasiya mu ggwanga, okulwanirira eddembe ly’obuntu kuba zezimu ku nsonga enkulu lwaki baalondeddwa.
Bannakibiina ki NUP bagamba nti wadde batuuse mu bukulembeze balina, okuwakanya obukulembeze bwa ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni, okulwanirira eddembe ly’obuntu n’okuyimirirawo ennyo ku nsonga ezinyigiriza bannayuganda.
Bannakibiina bakkiriziddwa okulayira kyokka balina okulinda okusalawo okwawamu okuva mu kibiina ku muntu gwe balina okuwagira ku kya sipiika n’omumyuka we ku bukulembeze bwonna omuli Palamenti, olukiiko lwa KCCA, obukulembeze ku disitulikiti n’ebifo ebirala.
Jimmy Lwanga, omubaka omulonde ow’e Njeru Monisipaali agamba nti ekitundu kye, abantu bangi n’okusingira ddala abavubuka tebalina mirimu era alina esuubi okweyambisa ekitundu ku musaala gwe okutonderawo abantu emirimu n’okuyamba ebibiina by’abakyala.
Ate omubaka omukyala ow’ekibuga Jinja Manjeri Kyebakutika agamba nti oluvanyuma lw’okulondebwa, afunye abantu ab’enjawulo abamutuukiridde okubayamba ne ssente za Kapito era naye alina esuubi okweyambisa ku musaala gwe, okuyamba abalonzi mu kitundu kye.