Omuwala akutte mukwano gwe ng’ali mu kaboozi, avudde mu mbeera!

Enseko n’okusakaanya bibuutikidde abatuuze ku zooni ya Ssebuliba e Kansanga mu divizoni y’e Makindye, omuwala bw’akutte muganzi we ali mu gy’obukulu 27 ng’ali mu kaboozi ne mukwano gwe mu nkuba y’okumakya ekedde okufudembe.

Omuwala ono, ali mu gy’obukulu 23 agamba nti okuva akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, abadde akubira muganzi we essimu, okumukyalira okubaako kyebetusaako mu nsonga z’omu kisenge, kyokka omusajja yagaanye okwanukula essimu ze.

Wabula olw’embeera y’obudde, obukedde nga bunyogovu, omuwala ono ategerekeseeko erya Viola akedde kubiteekamu ngato okukyalira muganzi we kyokka asobeddwa nakuba omulanga, bw’atuuse ku luggi nga luggale, muganzi we ali mu ssanyu lwa ku nsi ali mu kaboozi ne mukwano gwe.

Omuwala ng’akaaba

Wakati mu kulukusa amaziga, agambye nti muganzi we yamutikka olubuto, kyokka ensonga z’akaboozi ayongedde okuzebalama.

Wabula ssentebe w’ekyalo, asobodde okuyingira mu nsonga ezo, okuyita omuwala okumuyamba okusinga okukaabira ku luggi.

Ate omukyala Hajara Nakitto addukidde mu kkooti enkulu mu Kampala okunoonya obwenkanya ku mutabani we Amos Ssegawa eyattibwa.
Ssegawa eyali mu gy’obukulu 15 yali mu S2 ku Lubiri High School ettabi lye Buloba, y’omu ku bantu abasukka 40 abattibwa mu kwekalakaasa okwali mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo olwa Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okukwattibwa mu disitulikiti y’e Luuka nga 18, November, 2020 mu kiseera kya Kampeyini.
Kyagulanyi yakwattibwa, olw’okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okutambuza Covid-19, ekyavaako abawagizi be okwekalakaasa.
Mu dukaduka eyali mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo, Ssegawa y’omu ku bantu abakubwa amasasi mu Kampala agaamutirawo.
Kati no, maama w’omugenzi Nakitto agamba nti akooye okutambula mu offiisi nga tayambiddwa, kwe kuddukira mu kkooti enkulu, okunoonya obwenkanya.

Mungeri y’emu agambye nti mutabani we Ssegawa, yali mwana wa Talenti era yali amusuubiramu ebintu bingi ddala nga y’emu ku nsonga lwaki alina okulemerako okutuusa ng’afunye obwenkanya.

Mu kkooti, Nakito akulembeddwamu munnamateeka we Bubaker Matanda era agamba nti kkooti yesigadde okusalawo ensimbi ezigwanidde famire olw’okufiirwako mutabani waabwe.

Ebirala ebiri mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/778086133125440