‘Eyange si yabwereere’, mpa ssente zaange!

Okulwanagana kubadde mu kibuga Lagos mu ggwanga erya Nigeria, omukyala agambibwa okuba kafulu mu kusamba ogw’ensimbi bw’alumbye omu ku ssemaka okubanja ssente ze.

Omukyala ono ali mu gy’obukulu 30 agamba nti omusajja ategerekeseeko erya Ogewu yamulumbye akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo nga yetaaga akaboozi era ne bakaanya ku mitwalo 5 eze Nigeria.

Wabula agamba nti omusajja oluvanyuma lw’okusinda omukwano, yamusuubiza nga bw’egenda ku ssimu okuggyayo ssente ku Mobile Money, namwesiga kuba yabadde amumanyi.

Omukyala wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti omusajja teyakomyewo ate nga okwetunda, akikola olw’okunoonya ssente okulabirira abaana be.

Enkya ya leero, akedde kubiteekamu ngato okulumba omusajja okubanja ssente ze, era amusangiriza nga ekyebase, kwe kusaba omukyala okuyita bba, amuwe ssente ze nga bw’awogana ‘Eyange si yabwereere”.

Omukyala muka ssemaka, olukitegedde nti bba abanjibwa ssente z’akaboozi, ebikonde bitandikiddewo, okwekuba obusepiki era Poliisi wetuukidde okutaasa, nga Malaaya atabukidde omusajja ayagala ssente ze.

Poliisi ekutte omusajja ne Malaaya okuyambako mu kunoonyereza.

Ate mu Kampala wano mu Uganda, Waliwo ssemaka asindikiddwa ku kkomera e Luzira ku misango gy’okudda ku mwana eyali mukwano gwe namusobyako.

Musisi Tadeo ali mu gy’obukulu 32 nga mutuuze ku kyalo Kyebando – Kisalosalo, asimbiddwa mu kkooti ku Buganda Road enkya ya leero mu maaso g’omulamuzi Okello Miriam.

Musisi yakwata omwana ali mu gy’obukulu 17, eyali mu S4 era mu kkomera asindikiddwayo okumala emyaka 5.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 16, Janwali, 2021, Musisi yayita omwana okumwoleza ku ngoye kyokka mwana yali yakatuuka, yamuyita mu nnyumba okukima engoye endala era bwatyo yamusobyako.

Musisi mu kkooti

Omwana yakuba enduulu era neyiba yagenda okutuuka, nga Musisi amaze okumusobyako nga n’engoye aziyuzizza.

Oludda oluwaabi lugamba nti alipoota y’abasawo yalaga nti omwana asobezeddwako era y’emu ku nsonga lwaki Musisi asindikiddwa mu kkomera, okumala emyaka 5.

Musisi oluvanyuma lw’okukwatibwa, yatwalibwa ku Poliisi y’e Kyebando gye yagibwa okutwalibwa ku kitebe kya Poliisi mu Kampala ekya CPS ku misango gy’okusobya ku mwana atanetuula.

Wabula wadde Musisi asindikiddwa mu kkomera okumala emyaka 5, abamu ku famire y’omuwala basigadde si basanyufu nga bagamba nti abadde agwanira ekibonerezo ekinene okuba eky’okulabirako ku basajja abalala abegumbulidde okusobya ku baana abato.

Okufuna ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/3890858347628445