Ensisi ebuutikidde eggwanga erya Chad, omukulembeze w’eggwanga Marshal Idriss Deby bw’alangiriddwa nti afudde.

Idriss myaka 68 afudde nga wakayita olunaku lumu lwokka nga alangiriddwa nti yazzeemu okuwangula akalulu okweyongera okulembera Chad ekisanja eky’omukaaga (6) okuva 1990 lweyawamba obuyinza.

Okusinzira ku kiwandiiko ekisomeddwa amaggye ku ttiivi y’eggwanga, Idriss afudde nga kivudde ku biwundu ebyamutusiddwako bwe yabadde agenze okulwanyisa abatujju abaludde nga bawakanya Gavumenti ye mu mambuka g’eggwanga.

Omugenzi Marshal Idriss Deby

Olunnaku olw’eggulo ku Mmande, ebyalangiriddwa ebyakaseera okuva mu kakiiko k’ebyokulonda Idriss, yabadde alina ebitundu 79.3%.

Wabula Mahamat Zen Bada eyabadde akulembeddemu Kampeyini ze, agamba nti Deby yabadde alina okwogerako eri eggwanga okwebaza abalonzi okuddamu okumulonda, kwe kukyusa Pulogulamu, okusooka okulambula ku basirikale abali mu kulwanyisa abatujju.

Kigambibwa Idriss yakosebwa akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande, kwe kumuddusa mu ddwaaliro gy’afiiridde.

Abatujju okusinzira ku bitongole ebikuuma ddembe, beyongera okuyingira mu ggwanga erya Chad, nga 11, omwezi guno Ogwokuna era kigambibwa baalina ekigendererwa eky’okuyimiriza Idriss okweyongera okulembera eggwanga.

Mu kiseera kino omwogezi w’amaggye General Azem Bermandoa agambye nti olukiiko olufuzi olukulembera amaggye lukaanyiza mutabani w’omugenzi General Mahamat Kaka, amanyikiddwa ennyo nga Gen Mahamat Idriss Deby myaka 37 okusikira kitaawe, okudda mu ntebe ng’omukulembeze w’eggwanga.

General Mahamat Kaka

Deby abadde omu ku bakulembeze mu Africa abaludde mu buyinza era akulembedde Chad emyaka 31 era buli kulonda, abadde awangulira waggulu.

Wadde abadde aludde mu ntebe, obukulembeze bwe, buludde nga butawanyizibwa abayekera okutuusa lw’attiddwa.

Wabula abamu ku bakulembeze mu ggwanga erya Chad, bagamba nti amaggye tegalina buyinza kwediza bukulembeze era kye bakoze, okutegeeza nti mutabani w’omugenzi Gen Mahamat, kati ye mukulembeze omuggya, kimenya mateeka n’okuzimuula sseemateeka.

Mu 2021, Deby ye mukulembeze ow’okubiri okufiira mu ntebe mu Africa, oluvanyuma lwa John Magufuli abadde akulembera eggwanga erya Tanzania okufa omwezi oguwedde Ogwokusatu nga 17.

Omugenzi Idriss abadde ssentebe w’ekibiina ki Patriotic Salvation Movement, abadde musajja mufumbo ssaako n’abaana.

Yazaalibwa nga 18, June, 1952 mu bitundu bye Berdoba mu ggwanga lya Chad.

Okumanya ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/778086133125440