Poliisi ekutte omusajja Pasita aludde nga yeeyita prophete ku misango gy’okutta omuntu mu disitulikiti y’e Omoro.
Omusajja akwattiddwa alina ekkanisa mu ggoombolola y’e Aremo era akawungeezi k’olunnaku olw’olunnaku olwa Mmande aliko omukyala Poly Grace Akullu gwe yatimpula emiggo wakati mu kusaba.
Omusajja ono, yategeeza Akullu nti wadde mukyala musabi, alimu emizimu era ateekeddwa okugikuba emiggo okusobola okudduka.
Omukyala Akullu bamutimpula emiggo okutuusa lwe yazirika.
Wabula okusinzira ku ssentebe w’ekyalo Walter Okecha, omukyala Akullu yafudde bwe yabadde addayo awaka olw’emiggo emingi egyamukubiddwa mu kkanisa.
Wabula Poliisi ekutte omusajja ne banne babiri (2) okuyambako mu kunoonyereza ku kyavuddeko omukyala okutimpula emiggo.
Ate waliwo omukyala agaanye okwatuukiriza amaanya ge, agambye nti Pasita ‘prophete’ akwattiddwa, abadde yegumbulidde okuganza bakabasajja, ng’abasuubiza okubagyamu emizimu n’okusingira ddala, abakyala abalemeddwa okuzaala.
Ate adduumira Poliisi mu kitundu ekyo, Hassan Mugerwa agambye nti abasirikale basindikiddwa, okunoonyereza ku nsonga zonna.
Poliisi mu disitulikiti y’e Kasese ekutte omusirikale ku misango gy’okutta mukyala we.
Entiisa yagudde ku kyalo Burambira cell, e Kikongo ward mu Tawuni Kanso y’e Rugendabara.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Rwenzori east, ASP Nelson Tumushime, omusirikale Cpl. Serdick Nickson Kamara akolera ku kitebe kya Poliisi e Rubirizi mu disitulikiti y’e Rubirizi yakwattiddwa.
Kamara yasse mukyala we Zureha Muhindo myaka 28 nga yamukubye amasasi ku ssaawa 12 ez’akawungeezi agaamutiddewo olunnaku olweggulo ku Lwokuna era okunoonyereza kutandikiddewo.
Joseph Thembo, omu ku batuuze agamba nti bawulidde amasasi era bagenze okutuuka mu nnyumba ng’omulambo gwa Muhindo guli mu nnyumba mu kitaba ky’omusaayi ng’omusajja Kamara amaze okudduka.
Medius Masika, nga naye mutuuze agamba nti omusirikale Kamara aludde ng’alumiriza mukyala we Muhindo obwenzi era mbu alina abasajja abalala.
Ate Kojja w’omugenzi Luka Kiiza, asabye Poliisi okwanguyiriza okunoonyereza nga famire yetaaga obwenkanya ku by’okutta omuntu waabwe.
Abatuuze basabye Poliisi omusirikale Kamara okuwanikibwa kalaba kuba kiswaza okutta omuntu n’emmundu ya Gavumenti ng’alina okuba eky’okulabirako ku basirikale abalala.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/307826460751740