Kyaddaki akakiiko ak’oku ntikko mu kibiina ki National Resistance Movement (NRM) aka Central Executive Committee (CEC) kalonze omubaka w’e Omoro, Jacob Oulanyah okulemberamu ekibiina okuvuganya bwa sipiika.
Oulanyah abadde avuganya n’omubaka omukyala we Kamuli Rebecca Alitwala Kadaga, okulemberamu ekibiina ku bwa sipiika.
Olukiiko lwa CEC olwatudde okuva olunnaku olw’eggulo, enkya ya leero bakaanyiza Oulanyah okulemberamu ekibiina.
CEC okuvaayo n’erinnya lya Oulanyah, kabonero akalaga nti tewali kulonda mu kibiina olunnaku olwaleero okusalawo ani agenda okulemberamu ekibiina ku bwa sipiika.
Olunnaku olw’enkya ku Mmande nga 24, May, 2021, Palamenti lw’egenda okulonda sipiika wa Palamenti y’e 11 n’omumyuka we mu kisaawe e Kololo era NRM kati efunye Oulanyah okubakwatira bendera.
Wabula abamu ku babaka ba Palamenti abawagizi ba Kadaga bagamba nti ebya CEC bya CEC olunnaku olw’enkya Kadaga alina okuba kw’abo kwe bagenda okulonda sipiika wa Palamenti.
Wabula okusinzira ku ‘Sunday Monitor’, Omubaka we Bugiri mu Palamenti era Pulezidenti wa Jeema, Asuman Basalirwa n’omubaka we Kilak South munna FDC Gilbert Olanya abakulembeddemu Kampeyini za Kadaga ku bwa sipiika, bagamba nti Palamenti erina okunoonya omuntu alumirirwa eggwanga lye. Bagamba nti CEC erina eddembe okusalawo kyokka tewali muntu yenna agenda kubalemesa Kadaga mu Palamenti kuba yagwanidde obwa sipiika.
CEC tennaba kusalawo ku ky’okumyuka sipiika wa Palamenti era kigambibwa okuteesa ku kyagenda mu maaso.
Abegwanyiza okulemberamu ekibiina mwe muli abadde Minisita omubeezi ku nsonga z’ebyobulamu era omubaka omukyala owe Kakumiro Ronabinah Nabbanja, omubaka omukyala ow’e Bukedea Anita Annet Among, omubaka w’e Ruhinda North Thomas Bangirana Tayebwa, West Budama Jacob Marksons Oboth, omubaka we Lwemiyaga Theodore Sekikubo ssaako ne Robina Rwakoojo akikirira abantu b’e Gomba West.
Ku Lwokutaano, eyabadde Nampala wa Gavumenti mu Palamenti y’e 10 era abadde omubaka omukyala ow’e Kiboga Ruth Nankabirwa Sentamu, yawanjagidde bannakibiina kya NRM bonna okulonda Oulanyah ku bwa sipiika.
Nankabirwa agamba nti bakooye Palamenti ejjudde okutya mu kuteesa ssaako n’omuntu atawa kibiina kye kitiibwa.
Mungeri y’emu agamba nti bakooye okuseka, okuba engalo n’okufukamira olw’okuwa omuntu omu ekitiibwa nga banna NRM, balina okulonda Oulanyah, okutereeza ebyasoba.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/234316928453283