Poliisi y’e Mukono ekutte omukyala ku misango gy’okwagala okutta mukyala munne asulirira okuzaala.

Omukwate ye Robinah Nakaye, omutuuze ku kyalo Ssozi mu ggoombolola y’e Mpatta.

Nakaye yakubye n’okusala mukyala Jackeline Ndilimaana akawungeezi k’olunnaku Olwomukaaga.

Okusinzira ku sitetimenti ku Poliisi y’e Mpatta, Nakaye yabadde ayagala kutta Ndilimana ku bigambibwa nti abadde amwagalira omusajja.

Nakaye agamba nti ebigambo birudde nga bitambula nti Ndilimana ali mu laavu ne bba okutuusa lw’amukutte ng’ali mu kaboozi n’omusajja we kwe kumutema ejjambiya.

Ndilimaana yafunye ebisago ku mutwe, ekifuba, amaggulu ne ku mikono era atwaliddwa mu ddwaaliro lya Herona mu disitulikiti y’e Mukono okufuna obujanjabi. Dr. Robert Kizito akulira eddwaaliro agamba nti bakola kyonna ekisoboka okutaasa obulamu bwe Ndilimaana wadde yavuddemu omusaayi mungi.

Ndilimaana mu ddwaaliro

Mu kiseera kino wadde Nakaye akwattiddwa, Poliisi eri mu kunoonya omusajja eyavuddeko obuzibu Ronald Mukyana okugibwako sitetimenti.

Kigambibwa ne Mukyana yafunye ebisago wakati mu kwetaasa okudduka ku Nakaye eyabadde amukutte n’omukyala.

Abubakar Musiho, addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Mukono agambye nti Nakaye aguddwako omusango gw’okwagala okutta omuntu era okunoonyereza kutandikiddewo.

Ate Poliisi mu Kampala ekutte abantu basatu (3) abagambibwa nti baludde nga benyigira mu kutigomya abatuuze mu bitundu bye Kasubi ssaako ne Nansana.

Mu kikwekweeto ekyakoleddwa Nansana, Namungoona ne Kasubi, Poliisi egamba nti abatuuze baludde nga bakaaba ku babbi abasukkiridde okumenya amayumba gaabwe ne batwala ebintu eby’enjawulo.

Ebimu ku bizibiti ebizuuliddwa

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, abakwate kuliko Frank Ainebyoona, William Ssenyondo ne Nyesiiga Precious Kabiizi.

Poliisi egamba nti oluvanyuma lw’okukwata Ainebyoona, yakulembeddemu abasirikale okubatwala gye bakweka ebibbe era Ttivi 10 eza Flat Screen zizuuliddwa, Laptop 8, DVD 3, amplifier, 1, obuzindaalo 13, amassimu ga Smart Phone 4 ssaako n’ebintu ebirala.

Mungeri y’emu bazudde ebyuma ebisala ekkufulu, amabaati, enzigi, ejjambiya, ebyambe ssaako n’ennyondo zebaludde nga beyambisa mu kutigomya abantu.

Abakwate, kigambibwa baludde nga batigomya ebyalo okuli Lungujja, Kasubi, Namungoona, Mengo, Kisenyi ne  Nansana era Poliisi, etandiise okunoonyereza ku nsonga ezo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/1110658619443212