Poliisi ekyalinze alipoota y’abasawo mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okuzuula ekituufu ekyaviiriddeko James Eyangu, okufa.
Eyangu abadde omuyizi ku Yunivasite e Makerere era y’omu ku bayizi abaatikiddwa ku mattikira ag’e 71 sabiiti ewedde, yasangiddwa mu kazigo mwabadde asula e Makerere mu Kikumi Kikumi nga z’embuyaga ezikunta akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Ssande nga 23, May, 2021.
Mu kiseera kino abatuuze ssaako ne famire, bakyasobeddwa ku kyavuddeko omuntu waabwe okufa era balinze alipoota y’abasawo okuzuula ekyavuddeko Eyangu okufa.
Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti alipoota y’abasawo yokka yegenda okuyamba okuzuula ekyasse Eyangu.
Eyangu yafunye ddiguli mu Biomedical Laboratory Technology era abadde musajja wa Talenti nga y’emu ku nsonga lwaki Kkampuni ya massimu esinga amaanyi mu ggwanga eya MTN yamukozesa okukuba akalango ‘More Supu’.
Mu kalango, akafuuka ensonga mu ggwanga, Eyangu yali musajja mu kakamu nnyo.