Kyaddaki Minisita omubeezi ow’ensonga ez’omunda mu ggwanga Gen. David Muhoozi, agamba nti omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okumulonda ku bwa Minisita, essaawa yonna agenda kuwumuzibwa, eky’okuddumira amaggye.
Gen. Muhoozi bw’abadde yakava mu kakiiko akasunsula abantu abalondeddwa omukulembeze w’eggwanga ku Palamenti, agambye nti essaawa yonna, eggwanga lyakutegeezebwa, ani alondeddwa, ku ky’okuddumira amaggye mu ggwanga.
Mu kiseera kino, Gen. Mohoozi ali mu ntebe 3 nga zonna zimwetagisa okuziwereza omuli y’omu ku bakikirira amaggye mu Palamenti, yadduumira amaggye mu ggwanga ate yalondeddwa minisita omubeezi ow’ensonga ez’omunda mu ggwanga.
Agenze okuvaayo nga bangi ku bannayuganda n’okusingira ddala ku mikutu miggata bantu, bagamba nti abantu nga Gen. Muhoozi, okusigala mu ntebe 3 y’emu ku nsonga lwaki n’ebbula ly’emirimu, lyeyongedde mu ggwanga.
Wabula agamba nti essaawa yonna, Omuddumizi w’amagye ow’oku ntikko Gen. Yoweri Museveni wakutegeeza eggwanga omuntu gw’alonze okudda mu bigere bye.
Gen. Muhoozi musajja munnamateeka nga yalondebwa ku ky’okuddumira amaggye mu 2017 okudda mu bigere bya Gen. Katumba Wamala.
Gen. Muhoozi era asambaze ebyogerwa nti amaggye, gayingiziddwa nnyo mu by’obufuzi ssaako ne mu kitongole kya Poliisi.
Agamba nti bannamaggye, basigala bantu era abetegefu okuwereza eggwanga lyabwe.
Gen. Muhoozi mu ngeri y’emu asuubiza okwongera okulongoosa ekifaananyi kya Minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga omuli ekitongole ekya Poliisi, ekikola ku ndaga muntu ssaako n’abantu abayingira n’okufuluma eggwanga.
Mu kiseera nga bannansi bakyalinze okutegeera agenda okudda mu bigere bya Gen. Muhoozi, okuva sabiiti ewedde, amawulire gabadde gatambula n’okusingira ddala ku Face Book nti Pulezidenti Museveni agenda kulonda Gen. Kale Kayihura musajja we.
Gen. Kayihura yaddumira Poliisi mu ggwanga okuva 2005 okutuusa 5 March 2018 era oluvanyuma Poliisi yalonda Martin Okoth Ochola okudda mu bigere bye.
Waliwo abagamba nti Pulezidenti Museveni ayinza okulonda mutabani we Lt. General Muhoozi Kainerugaba okudda mu bigere bya Gen. Muhoozi.
Gen. Kainerugaba myaka 47 mu kiseera kino yaddumira amaggye agakuuma pulezidenti aga Special Forces Command (SFC).